Explore
Also Available in:

Olubereberye: Ekitundu Ekibula mu Kakunizo

6154-crumbling-house

kyawandiikibwa Calvin Smith

Abakulembeze b’ekkanisa abasinga bandikkirizza nti buli mwaka ensi z’abazungu zongera obutaba nkristayo.

Endaba y’ensi

Amawanga agaali g’azimbibwa ku misingi gya Baibuli gatunuulira okugwa kw’empisa ez’okutya Katonda mu buwangwa bwaffe era Abakristaayo balabika nga tebalina maanyi kukikomya. Endaba y’ensonga ey’ensi ekontana nakino, ng’obutakkiririza mu Katonda, abantu okwemalirira, obukomyunisiti, omulembe omuggya, n’eby’obusamize bitumbuddwa nnyo mu byenjigiriza, emikutu gy’amawulire n’omuntu ku muntu eri abaana n’abantu abakulu.

Ng’ekkanisa erina ebitundu bingi by’erina okukolako, twetaaga okwebuuza, tuyinza tutya okureetawo enjawulo? Tuteeka wa amaanyi gaffe? Kino kyaliwo mu butanwa oba waliwo ensonga esingako awo? Abakulembeze b’ekkanisa batadde nnyo essira ku pulogulaamu, okubudaabuda abantu n’ebirala wabula kirabika nga waliwo ekintu ekyabula. Kiringa akakunizo akanene, era ng’ekkanisa erabika nga tesobola kuzuula ‘kitundu ekibula’ mu kakunizo kano.

Ebintu ebitwetoolodde bwe biba nga bigenda biseebengerera, twetaaga okudda ku bisookerwako. Awatali musingi munywevu, ekizimbe ku nkomerero kiba kijja kukulugguka era kigwe. Zabbuli 11:3 egamba nti, ‘Oba nga emisingi girizikirizibwa, Kiki omutuukirivu ky’ayinza okukola?’ Olunyiriri luno lulina okutuleetera okwekenneenya emisingi gyaffe, ekiyinza okutuleetera okutegeera obulungi ensonga lwaki tusisinkana ensonga zetusisinkana.

Endaba y’ensi yonna ey’abatakkiririza mu Katonda

Wabula nga tetunnatunuulira misingi gyaffe, katutunuulire egyo egy’enjawulo ennyo n’endowooza ey’Ekikristaayo ey’ensi yonna—nga bwebutakkiririza Katonda. Endaba y’ensonga eno, etegeereza ddala nti, ‘tewali Katonda’. Endaba yensonga mu nsi yonna ewa eby’okuddamu eri ebibuuzo ebikulu nga; ‘twaava wa? Era nti abatakkiririza mu Katonda bannyonnyola batya ensibuko yaffe awatali Katonda? Kino kibannyonnyolera ddala okubeerawo kwaffe awatali Katonda-mu ngeri yakubaawobubeezi. Mu bufunze, enyinnyonnyola y’okufuuka kw’ensi erimu bino wammanga;

Okufuuka kw’obwengula

17054-cosmic

Emyaka obuwumbi n’obuwumbi mubiseera ebyemabega, ebintu n’amaanyi byabaawo oluvannyuma ‘lw’okubwatuka okunene.’ Ng’emyaka buwumbi nabuwumbi gimaze okuyitawo, zi ssengendo, n’emmunyeenye, ne ssemazinga byatondebwa —byokka nabyokka.

Okufuuka Kw’ebyomuttaka/enjazi

Ensi yatandika ng’ekintu ekyekulungivu ekyokya nga kisanuuse, oluvannyuma ne kiwola olwo omukka guno ogwookya bweguwolera ddala nga gufuuka amazzi era gano ne gekungaanya ne gajjula ga ssemayanja.

Okufuuka okuleetebbwa okwegatta awamu kwebintu ebyenjawulo

Oluvannyuma lw’ekiseera ekintu ekiramu ekirina obusobozi obwekubisaamu kiva mu bintu ebitlina bulamu.

Okufuuka kw’ebiramu

Ekitonde kino eky’enjawulo kyafuuka ekintu ekizibu okutegeera okumala obukadde n’obukadde bw’emyaka nga kiyita mu nkyukakyuka mu ndaga butonde n’okufuuka kwebintu okusinziira ku mbeera zekitundu nga kino kireeseewo obulamu ku nsi yaffe eno kwetuwangaalira.

17054-human

Okufuuka kw’omuntu

Oluvannyuma ebitonde ebiringa enkima byafuna okweyongera mu kukola kw’obwongo awo abantu ne balyoka babaawo, ne baloka batondawo ebibinja by’abantu n’obuwangwa oluvannyuma newagunjibwaawo amateeka, amadiini n’ebitongole ng’obufumbo. Abakugu mu by’okufuuka balaga nti ebyafaayo by’ensi ebiva mu kusoma ku njazi byebilaga obukakafu mu sayansi bw’okufuuka kuno.

Eby’omumaaso ebitamanyiddwa

Olw’okuba ensi yonna efugibwa amateeka g’ebibalo ebinnyonnyola ebintu ebitamanyiddwa bwebinaaba ekiraga nti eby’omumaaso ‘tebimanyiddwa’, awo nga tewajja kubaawo nate maanyi gonna ag’obutonde. Tewalibaawo bulamu era oba olyaawo buli kintu kyonna kijja kuggwaawo awo buli kimu kitandike buto.

Tewali ssuubi lya nkomeredde

Endaba y’ensi ey’obutakkiririza mu Katonda, eyesigamiziddwa ku byafaayo bino ebiteeberezebwa, egamba nti twalina entandikwa ya butanwa; era nti twabaawo mu nkola ya lukisakisa era nti tewali ssuubi lya nkomeredde eri ebiseera eby’omumaaso. Egamba nti tewali bikakafu, tewali musingi gwa bugunjufu oba mpisa z’amubantu ng’ojjeeko ekyo buli muntu ky’asalawo nti ky’ekituufu jaali ye.

6154-ark

Obutakkiririza mu Katonda n’okukkiriza mu Katonda oluusi tebinyonnyoddwa bulungi era nga ‘ssaayansi’ ‘n‘okukkiriza’. Kino si kituufu kubanga okufuuka (evolution) ndowooza ya nsi era nga yeesigamiziddwa ku kukkiriza. Mu butuufu, abakugu mu byokufuuka n’abawagira obutonzi balina ensonga za ssaayansi z’ezimu ddala ze balina okwekenneenya. Tewali ndaba ya kinnassaayansi omuntu akkiririza mu butonzi ky’ayinza obutakkiriziganya n’amuntu akkiririza mukufuuka. Abakkiriza obutonzi tebakkiriziganya na nnyinyonyola y’abakkiririza mu kufuuka kw’ensi olw’ensonga nti tetukkiriziganya ngeri gyebatandika nnyinyonyola zaabwe engunje.

Enjawulo entuufu ya byafaayo by’ensi nti buli kibinja kirina kyekikkiririzaamu, mu kukkiriza kwakyo. Lwaki olw’okukkiriza? Kubanga tetusobola kutambula kudda mabega mu biseera okulaba obulamu obwasooka nga bufuuka oba okwetegereza Katonda ng’atonda ensi eno kwetuli. Kale okutegeera kwaffe ku ebyo ebyaliwo emabega kwesigaziriddwa ddala ku kukkiriza. Era tusobola okukozesa enkola za ssaayansi okwetegereza obujulizi obuli mu kiseera kino, era oluvannyuma ne tukola okwekenneenya ebyafaayo ki ebisinga okuwagirwa obukakafu obwo.

Ekitundu ekikulu mu kakunizo; Kristo yafiirira ebibi byaffe

Abakristaayo bangi bakkiriza nti ensonga y’obutonzi/n’okufuuka kw’ensi nsonga ya lubalaato, era nti kintu ekitalina kussibwaako ssira. Eri abangi kirabika nga ekyawukanya, era nti kirina akakwate katono mu kubuulira Enjiri.

Okuzuulira ddala oba eno nsonga ssi nkulu nnyo kiryawo, ka tugende ku njigiriza enkulu ey’amakanisa gonna ag’enjiri. Kumpi buli Mukristaayo yandikkirizza nti ekitundu ekikulu eky’endowooza y’ensi ey’Ekikristaayo ye Mulokozi waffe, Yesu Kristo. Baibuli egamba nti Yesu yafuuka ‘Adamu asembayo’, n’afiira ku musaalaba olw’ebibi by’ensi era n’asasulira ekibonerezo kye tugwaanidde, olwo ku lunaku lw’omusango tuleme kubonaabona kwawukana ne Katonda emirembe gyonna mu geyena.

17054-virgin

Okuzaala kw’embeerera

Obulombolombo nga Ssekukkulu bwava mu kuzaalibwa kwa kuzaalibwa kwa Yesu, ekyalagulwa mu Ndagaano Enkadde. Kristo ‘yazaalibwa mbeerera’, Omwana wa Katonda atalina kibi, atuukiridde mu buli ngeri asobole okwetikka ebibi by’ensi nga ssaddaaka yokka esaanira.

Okuzuukira

Paasika kwe Kujaguza okuzuukira kwa Yesu, era okwolesebwa kw’obuwanguzi bwe ku kibi n’okufa. Yesu yakkiriza akakwate akaliwo wakati w’ebintu bino ‘eby’oku nsi’, ebibaawo mu biseera/bifo ebituufu ebikwata ku mazima ag’omwoyo bwe yayogera ne Nikodemo ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.

Yesu agamba nti; ‘Bwe mbabuulidde eby’ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby’omu ggulu?’ (Yokaana 3:12) Bayibuli eraga bulungi nti singa ebintu bino tebyabaawo ddala tuba tukyabulidde mu bibi byaffe, okukkiriza kwaffe kwa bwereere, era tuba tuli bakusaasirwa okusinga omuntu yenna.

Naye lwaki okukomererwa kwali kwetaagisa? Lwaki Yesu yalina okufa mu ngeri ey’entiisa bwetyo? Okutegeera kino, tulina okuddayo ku misingi gy’okukkiriza kwaffe, nga tusimbye emmizzi mu ndagaano enkadde. Yesu yakkiriza obuyinza bw’endagaano enkadde buli lwe yagamba nti ‘Kyawandiikibwa …’ oba ‘Temusomanga…’

Ekitabo ky’Olubereberye kituwa okutegeera obulungi ensonga lwaki Yesu yajja. Kyali kya kutereeza kizibu ekyaleetebwa omutwe gw’olulyo lw’omuntu, Adamu eyasooka.

Obutonzi

Bayibuli ennyonyola ku kutondebwa kw’ensi etuukiridde okwa Katonda, olusuku olwalimu buli kintu nga ‘kirungi nnyo’. Olubereberye 1:29 lugamba nti omuntu n’ebisolo byalyanga ebimera (tewaaliwo birya nnyama) n’olwekyo tewaali kuyiwa musaayi. Tewaaliwo kibi, kwonooneka wadde okufa.

Okugwa

17054-fall

Katonda yawa Adamu ekiragiro nti tasaanidde kulya bibala by’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi, era n’amugamba nti okufa kwekulivaamu singa akikola. Eky’ennaku, Adamu yasalawo okukozesa eddembe lye ery’okwesalirawo mu bujeemu obweyoleka eri Katonda.

N’ekyavaamu, Katonda kukolimira nsi, era okubonaabona n’okufa ne biyingira mu nsi. Olw’okuba Adamu yali mutwe gw’olulyo lw’omuntu, obutonde bw’ekibi kye bwadda ne mu bazzukulu be bonna. Abaruumi 5:12 egamba nti, ‘Olw’ebyo, nga ku bw’omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona:

Omuntu kati ayawukanye ku Katonda, si kusobola kufa mu mubiri gwokka, naye era ne mu mwoyo mufu.

Okusala omusango

Mu Lubereberye 6 tusoma engeri Katonda gye yasalira ababi omusango mu mataba ag’ensi yonna nga ‘… ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna zaali zibuutikiddwa amazzi.’ (Olubereberye 7:19) Omusango guno gwasindikibwa mu okusaanyaawo buli kintu kyonna era kyokka ekibeera ku lukalu, okuggyako omutuukirivu Nuuwa, ab’omu maka ge, n’ebika by’ebisolo eby’okulukalu ebyakiikirira ebirala ebyari ku lyato lino eddene. Kino kye kinnyonnyolera ddala ekyaliwo n’ekyavaamu ku ebyo ebikwata ku byaziyazi, obuwumbi n’obuwumbi bw’ebintu ebifu ebyaziikibbwa mu njazi olufuuse ensenke mu nsi yonna.

Okufaanagana kuno n’omusango ogujja kwogerwako mu 2 Peetero 3:6 ne 7: ‘ensi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira: naye eggulu erya kaakano n’ensi olw’ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango n’okuzikirira kw’abantu abatatya Katonda.

Amateeka

Oluvannyuma lw’ekyo Katonda yassaawo Amateeka okuyita mu Musa, agaali gayigiriza okwawula ekituufu n’ekikyamu n’enjigiriza z’embeera z’abantu. Ekisinga obukulu kyalaga nti abantu tebayinza kutuuka ku mutindo gwa Katonda, nti ‘bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.’ (Abaruumi 3:23) Pawulo agamba nti ‘… Ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka.’ (Abaruumi 7:7) Okumanya ekibi n’omusango kireetera abantu okunoonya okusaasirwa ku musaalaba gwa Kristo.

Okuzzibwaawo

17054-restoration

Essuubi ery’omukisa erya Baibuli kye kiseera oluvannyuma lw’omusango gwa Katonda ogujja lw’alizzaawo ensi mu ngeri gye yali mu kusooka okutuuka ku kibi n’okufa. Tewajja kubaawo ‘… tewajja kubaawo kufa wadde okukungubaga oba okukaaba oba obulumi …’ (Okubikkulirwa 21:4) Tujja kufuna emibiri emipya, egitavunda. Omulabe asembayo, okufa, ajja kuzikirizibwa …

Okumanya okw’omusingi —amaanyi agakyuusa essuubi ery’omukisa

Okutuukirira, enguzi, okusala omusango, obulokozi n’okuzzibwaawo. Kino kye ‘kifaananyi ekinene’ eky’ebyafaayo by’ensi n’obuntu nga bwe kibadde kisomesebwa era nga kikkirizibwa ekkanisa y’obukristaayo okumala emyaka nga kkumi na munaana kati. Okutuuka emyaka nga 200 egiyise mu nsi z’amawanga g’abazungu, n’abantu abasinga obungi abatali Bakristayo bakkiriza ebyafaayo bino. Kale kiki ekyakyuka? Kino kirina engeri yonna gye kyekuusa ku ntalo ekkanisa z’eyolekedde?

Emyaka nga 200 egiyise endowooza ya ‘obukadde n’obukadde bw’emyaka’ yatandika okwettanirwa abantu abamu bwe baddamu okunnyonyola enjazi n’ebintu eby’edda, nga si lw’amataba ga Nuuwa, wabula nga lwa byafaayo eby’emyaka obukadde n’obukadde. Endowooza y’ebyafaayo eby’edda nga tebinnabaawo ‘ebyawandiikibwa’ mu njazi kyaggulira ekkubo eri endowooza ya Darwin ku kufuuka kw’ensi —enkola zaayo eziteesebwako empola ez’omutendera ku mutendera nga zeetaaga emyaka mingi, eby’ettaka ‘eby’emyaka mingi’ bye byawa.

Leero ebyafaayo bino eby’ensi eby’emyaka emingi bitumbulwa kumpi ebifo byonna eby’ebyenjigiriza ebya zi gavumenti. Abakristaayo bangi beettanira ebitundu ebimu ku ‘byafaayo’ bino era ne bagezaako okubitabaganya ne Baibuli. Bangi beebuuza oba Katonda ayinza okuba nga yakozesa enkola y’okufuuka kw’ensi, oba obukadde n’obukadde bw’emyaka egy’enkola y’okwefuula nga zino oba olyawo zikwatagana n’enjigiriza y’Ebyawandiikibwa. Abantu abamu balowooza nti ssaayansi n’eddiini bintu bibiri eby’enjawulo era nti Bayibuli terina kakwate konna ku nsi eyobuliwo. Bangi bamala gakkiriza nti nsonga yakubalaata.

Endowooza z’ensi ezikontana

17054-worldviews

Ka tutunuulire ensonga emu ey’olugero lw’okufuuka kw’ensi era tulabe engeri gy’ekwata ku njigiriza y’Ekikristaayo. Abakristaayo abangi abayinza obutakkiririza mu butuufu bw’okufuuka kw’ebisolo n’omuntu bakkiririza mu kubaawo kw’ensi oluvannyuma lw’obukadde n’obukadde bw’emyaka. Wabula endowooza y’emyaka obukadde n’obukadde eva mu nnyinyonyola y’okubaawo kw’emyaaliro gy’amayinja mu nsi yonna, egyiteeberezebwa nti gyatekebwaawo mpola mpola, era nga girimu esisigalira by’ebisolo ebyafiiramu.

‘Obukadde bw’Emyaka’ bugwa wa?

Mu butuufu tewali muntu yenna yandigezezzaako kuwa makulu ebyafaayo eby’emyaka obukadde n’obukadde oluvannyuma lw’ebyafaayo bya Adamu ne Kaawa. Bagezaako okukiyingiza mu Baibuli nga Adamu ne Kaawa tebannalabikako. Naye ekyo bwe kiba nga kituufu olwo tulina okuteleeza mu biwandiiko by’ebibisigalira by’ensolo ebyedda, nga kino kyekiraga kufa! Abakugu mu by’ebintu eby’edda batuuse n’okuzuula ebikolwa eby’okulya ennyama, ebizimba bya kookolo n’amaggwa mu bisigalira ebyedda.

Okufa nga ekibi tekinnabaawo

17054-eden

Kino kirina ebigendererwa ebinene ennyo mu by’eddiini. Bwe tukkiriza endowooza y’emyaka y’obukadde n’obukadde tuba tugamba nti waaliwo obukadde n’obukadde bw’emyaka egy’okufa, endwadde n’okuyiwa omusaayi nga Adamu tannaba kwonoona. Naye kino kikontana n’enjigiriza etegeerekeka eya Baibuli Katonda mwe yalangiririra okutonda okuba nti ‘kulungi nnyo’ era ng’okufa kwaliwo oluvannyuma lwa Adamu okwonoona.

Bwe tuteeka ekiseera ky’obukadde n’obukadde bw’emyaka mu Baibuli bwe tuti, mbagirawo ebitundu by’Ebyawandiikibwa ebimu tebikola makulu; Abaruumi 6:23 ‘ … Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa … ’ Bwe kiba nti okufa kwaliwo nga Adamu tannaba kwonoona, empeera y’ekibi y’eruwa? Abaruumi 5:12 ‘ … olw’omuntu omu ekibi ne kiyingira mu nsi, n’okufa olw’ekibi … ’ Okufa tekwandiyingidde olw’ekibi kya Adamu singa kyaliwo okuva dda. Abebbulaniya 9:22 ‘ … awatali kuyiwa musaayi tewali kusonyiyibwa … ’ Okuyiwa omusaayi kwandibadde na kakwate ki n’okusonyiyibwa ekibi singa okuyiwa omusaayi kwali kumaze emyaka obukadde n’obukadde nga wekuli?

Kino kikwata ku Njiri

6154-resurection-puzzle

Kino kikwata butereevu ku bubaka bw’Enjiri kubanga Yesu yasindikibwa okusasula ebbanja ekibi kya Adamu lyekyaleeta. Yesu yafa okufa okw’omubiri, n’ayiwa omusaayi gwe, n’awangula ekibi n’okufa era n’asuubiza okukomawo nate okuzzaawo ensi mu ngeri gyeyalimu ‘mu ntandikwa’. Singa obukadde n’obukadde bw’emyaka egy’okuyiwa omusaayi kwaliwo ng’omuntu tannakola kibi, Katonda ensi yandijizizzawo atya mu biseera eby’omu maaso?

Bwe kiba nti ddala ensi ewezezza emyaka obukadde n’obukadde olwo ebyogera ku butonzi birabika ng’enfumo okusinga ebyafaayo, naye kino tekikwatagana na njigiriza ya Yesu. Ye yawagirira ddala butereevu, era n’alabula ku butakkiriza, biwandiiko bya Musa mu Yokaana 5:46–47 bwe yagamba nti ‘Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze. 47Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?’

Abatakkiriza abasinga obungi leero beegaana ebiwandiiko bya Musa, era bwe batyo ne bagaana enjigiriza ya Kristo. Obutonzi bulowoozebwa mu ngeri y’akufuuka bufuusi; ekibi mbu ‘kintu kya ssanyu’, etteeka nti terikyali lya ‘kituufu okuva ku kikyamu’ wabula kyonna ky’osalawo. Era mbu n’okukkiririza mu mataba g’ensi yonna kumpi mu nsi yonna kugaaniddwa.

Eri Abakristaayo, okwegaana ebiwandiiko bya Musa naye ne banywerera ku njigiriza ya Yesu, eno ndowooza etakwatagana. Ebyembi, abatakkiririza mu Katonda balabika nga bategeera obutakwatagana buno okusinga Abakristaayo abasinga obungi, era babukozesa nga bagezaako okutyoboola endowooza y’Ekikristaayo mu nsi nga bwebatumbula eyabwe. Wetegereze ebigambo bino wammanga okuva mu Richard Bozarth atakkiririza mu Katonda okuva mu lupapula lwa American Atheist Olw’omwezi ogw’okubiri 1978:

‘Kyeyoleka bulungi kati nti obukakafu bwonna obw’obulamu n’okufa kwa Yesu bwesigamiziddwa ku kubeerawo kwa Adamu n’ekibala ekyagaanibwa ye ne Kaawa kyebaalya. Awatali kibi ekyasooka, ani eyeetaaga okununulibwa? Awatali kugwa kwa Adamu mu bulamu obw’ekibi obutasalako obukomekkerezebwa okufa, kigendererwa ki ekiri mu Bukristaayo? Tewali. Bino byonna kye bitegeeza nti Obukristaayo tebusobola kufiirwa lugero lw’Obutonzi oluli mu Lubereberye… Obukristaayo bulwanirira bulamu bwabwo bwennyini.’

Kino ssi kyakubuusa maaso

Ng’ogyeeko kino okutwalibwa obutaba nnyo nsonga, okukubaganya ebirowoozo ku kutondebwa/n’okufuuka kw’ensi kuli ku mwanjo eri okulumbibwa kw’endowooza y’Ekikristaayo. Obuweereza bwa Creation Ministries International buliwo okuyamba abasumba n’abakulembeze b’ekkanisa okusobozesa ebibiina byabwe okukozesa mu ku mulamwa guno ogukwaata ku nsibuko okuva mu ndowooza essa ekitiibwa mu Katonda, nga ‘Baibuli yesooka’.

Abakristaayo abasinga obungi balina ebibuuzo ebikwata ku ssaayansi ne Baibuli, era olw’ebyo bangi balafubana n’okukkiriza kwabwe. Okujulira Yesu kuyinza okuba okuzibu kubanga ensi ebuuza ebibuuzo ebizibu ebikwaata ku bino era Abakristaayo bangi bawulira nga tebalina busobozi kubiddamu. Emirundi mingi kizibu okugabana Enjiri ya Yesu olw’ebibuuzo ebiva mu bitabo bya Musa.

Ate kiri kitya ku bibuuzo ebikwata ku bisolo ebiyitibwa dinosaurs? Kayini yaggya wa mukazi we? Omanya otya nti waliwo Katonda? Ate kiri kitya ku kufuuka kw’ensi? Nuuwa yasobola okuyingiza ebisolo byonna ku Lyato? Amataba ago gaali ga nsi yonna? Ate enkola y’ennaku z’omwezi mu biro ebyo?

Okusobozesa ekkanisa

Aboogezi abakugu mu kitogole kya CMI, bangi ku bbo nga bannassaayansi bakugu ddala ku mutendera gwa PhD, bakkiriza okuyitibwa okuva mu makanisa okwanjula eby’okuddamu ku bibuuzo bino n’ebirala bingi mu ngeri ey’ekikugu, etali ya kulumba, so nga tebavudde ku buyinza bwa Byawandiikibwa.

Basobolera ddala okulaga ekibiina kyo ebyokulabirako bingi ebiraga engeri ssaayansi gy’awagira ekyo Baibuli ky’eyogera mu Lubereberye. Enyanjula zino zitambula mangu nga ziriko ebifaananyi bya PowerPoint ebikwata ku buli muntu okuva ku Jr. High n’okweyongerayo waggulu.

Okuva mu bujulizi bwe tufunye emyaka egisukka mu 30 egy’obuweereza enkola y’abuno etondeddwaawo. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana abantu bakyamuka ku lw’ekigambo kya Katonda, era nebalaba nti kisobola okuwolerezebwa mu ngeri entegeerekeka, awonno ne batandika okubuulira n’obuvumu obusingako.

Bw’oba wandyagadde okwekwaata omu ku boogezi baffe1 oba oyagala okumanya ebisingawo osobola okututuukirira/okutuwandiikira ebaaluwa ya email.

ebifulumiziddwa 6 Omweezi ogusooka 2009

Ebiwandiiko ebijulizibwa

  1. Ennyanjula z’aboogezi ba CMI ziraga nti waliwo eby’okuddamu ebilambulukufu eri okuwakanya n’okubuuza abantu okwa bulijjo ebikwata ku nsonga y’obutonzi/n’okufuuka kw’ensi, nga bino bye bimu ku bisinga okuwakanya okukkiriza mu Kristo. Okumanya ebisingawo, genda awali ‘Okwogera n’obuweereza butereevu’ ku mukutu gwa Bye tukola. Ddayo ku kiwandiiko.

Further Reading